Gavumenti etandise okusomesa abalimi okulongoosa eby'ennima
Gavumenti ebakanye nekaweefube ow’okubangula abalimi ku nnima ey’omulembe esobola okugumira enkyukakyuka mu mbeera y’obudde n’ekigendererwa eky’okulaba ng’abalimi babeera n’emmere emala mu kiseera kino ng’ebiseera omulimirwa bigenda bikyukakyuka. Enteekateeka eno okusinga egenda kutunuulira balimi abasookerwako era yakweyongerayo ne mu banoonyi b’obubudamu naddala abo balina ebifo webasobola okulimirira.