ABAANA ABANAFU KU BWONGO: Abazadde boogedde bye bayitamu okubalabirira
Abazadde abalina abaana abazaalibwa n’obulemu ku bwongo obuvaako ebitundu by’omubiri ebimu okusannyalala bw’owulira bye bayitamu okulabirira abaana bano, weewuunya okwewaayo kwe balina. Ekirwadde kino kiyitibwa Cerebral palsy naye abaana bangi abazaalibwa nakyo basuulibwawo ate abalala ba kitaabwe badduka ku ba nyabwe ne babalekera