ABAANA ABALIKO OBULEMU: Abazadde bakubiriziddwa okuyiga olulimi lw’obubonero
Abasomesa b'abaana abaliko obulemu bw'obutawulira bennyamivu olw'abazadde b'abaana bano abatafuddeeyo kuyiga lulimu lwa bubonero okwogerezeganyanga nabo. Bagamba nti kino kikaluubirizza abazadde bangi okuba n'akakwate ku baana baabwe ne kitondawo omuwatwa mu nkolagana. Mulago School of the Deaf ly'erimu ku masomero agafuddeyo okulaba ng’abaana bano bafuna ku bulamu obweyagaza era ng'olwaleero bajaguza emyaka 25 nga bali mu buwereeza buno. #