Abaafiridde mu mataba baziikiddwa
Abooluganda abasatu abamu kw’abo abaafiiridde mu mataba mu kitundu ky’e Mbale baziikiddwa olwaleero. Bano baziikiddwa ku kyalo Kiryankuyege mu district y’e Lwengo wakati mu biwoobe n’okwaziirana. Amaka abaana bano mwebava baazaalibwamu bana bokka era nga kitaabwe ennaku gy’alina yakusigaza omwana omu yekka nga kati k’ekibiriiti.