Aba FDC baweereddwa olunaku lw’okusunsulwa
Patrick Oboi Amuriat agenda okukwatira ekibiina ki FDC bendera ku kifo ky'omukulembeze w'e Ggwanga naye akutte lwa kubiri nga 3 okusunsulibwa n'okwewandiisa mu butongole ku kifo kino eri akakiiko k'ebyokulonda. Amurit wakuttunka n'abalala mwenda okuli ne pulezidenti aliko kati Yoweri Kaguta Museveni abakatuukiriza ebisanyizo ebibakiriza okusunsulwa ku kifo ky'entebbe enkulu ey'e Ggwanga.