Aba Boda-Boda e Mubende baagala gavumenti ebawe emmere
Abamu ku bagoba ba bodaboda e Mubende basabye Pulezidenti Museveni addirize ku muggalo waakiri betikke emigugu oba omuntu omu basobole okufuna ku nsimbi kubanga embeera ebayinze. Abamu betwogedde nabo balajanidde gavumenti waakiri ebaweereze ku mmere nga bwekyali mu biseera bya Covid kubanga tebakyakola sso nga n’ezimu ku pikipiki zaabwe zikyakwatiddwa ku poliisi.