Okufa kwa Henry Katanga :Abajulizi abalala babiri boogedde
Okuwulira omusango gw’okutta omusubuuzi Henry Katanga kuyingidde olunaku olw’okubiri olwaleero era nga akulira Poliisi ye Bugoloobi Peter Ogwang yabadde omujulizi ow’okusatu . Ono ategeezezza kkooti nga muwala w’omugenzi, nga ye Patricia Kakwanzi yamusaba abikirire okufa kwa kitaawe ategeeze nga bwafudde mu butanwa era nga kabadde kabenje.