‘Nze mbivuddemu’ Kintu Kisekulo avudde mu lwokaano lw’enkya
Ssentebe wa District ye Kyotera Patrick Kintu Kisekulo awanduse mu kalulu ak'okuddamu okuvuganya ku kifo Kya ssentebe wa district eno.Kisekulo bino abyogeredde ku Sterling gardens mu district y'eKyotera mu lukiiko olwetabiddwamu amyuka Ssentebe wa Nrm mu ggwanga Hajji Moses Kigongo naategeeza nga bw'asazeewo nga ye nga kino akikoze ku lw'obulungi bw'ekibiina.