‘Mutusonyiwe Bye Twasobya’ :Museveni ne mukaziwe beetondedde Buganda
Olunaku lw’eggulo omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yasinzidde mu lukung’ana lwenjiri olwatuumiddwa Light Up Uganda for Jesus Mission Convention olwategekeddwa muwalawe Pastor Patience Rwaboogo ku kisaawe e Kololo neyeetondera ekitundu kya Buganda olwa byonna by’abatuusizzaako mu myaka kyenkana 40 gyeyakamala mu buyinza.
Mukiwandiiko kyeyasomye ng’ali wamu e Mukyalawe Janet Kataha Museveni , yagambye nti bwekiba kisoboka omukwano ogwekimemmette guddemu wakati w’ekibiina ki NRM n’abantu ba Buganda okwenkanira ddala nga bwegwali nga baakajja mu buyinza.