“Musimbe amabanda” Minisita Nandutu akunze abantu b’e Bududa
Minisita omubeezi ow’ensonga za Karamoja Agness Nandutu era nga ye mubaka omukyala owa district ye Bududa akubirizza abaayo okusimba amabanda nga kino kijja kuyambako okulwanyisa okuyigulukuka kw’ettaka mu kitundu kino okwafuuka baana baliwo, ono agamba nti amabanda gayambako okukwatta ettaka n’ekiremesa ettaka okuyiika. Bino okubyogera yabadde nga atongoza okusimba kw’amabanda.