‘Mukwatire awo bannaffe’, abakulembeze b’ennono baweereddwa mmotoka kapyata
Olwaleero abakulembeze b'ennono abatali bamu bafunye mmotoka okuva mu gavumenti okubayambako mu mirimu gyabwe eyo mu bantu be balamula.Entekaateka eno ekulembeddwamu ministry y'ekikula ky'abantu era nga buli mukulembeze kw'abo e 15 abamanyiddwa afunye mmotoka bbiri.Wabula tukitegedde nti Kabaka wa Buganda ye tafunye nga abakulu bagamba nti ono baamuwaamu ensimbi ezenkanankana n'emmotoka ezo. Kyokka bino obwakabaka bubyegaanye, nga bugamba nti bbwo busobola okwekolera ku nsonga zaabwo.