LIIGI YA ZIYUNIVASITE: Eddamu okutojjera enkya n’eza kwota fayinolo
Liigi y'omupiira gw'amatendekero aga waggulu eddamu okutojjera olunaku olw'enkya ku mutendera gwa quarter finals.
Kampala University abaakawangula ekikopo kino emirundi ebiri be bagenda okuggulawo oluzannya luno nga bakyaza St. Lawrence University e Kibuli.
Bano baasemba kusisinkana mu 2018 era nga St. Lawrence omupiira ogwo yaguwangula 2-1.