E Kumi basabye babakolere ku nguudo eziri obubi
Abalimi n’abalunzi mu bitundu bye Teso bawanjagidde gavumenti ne bbanka yensi yona okubakolera enguudo mu kitundu kino kisobozese okufuna akatale k'ebyamaguzi byabwe.
Mu kiseera kino bano bakalubirizibwa okusaabaza ebyamaguzi byabwe olw'enguudo eziri mu mbeera embi.
Bino w'ebiggyidde ngabakulu mu minisitule y’ebyobulimi ne bbanka yensi bali mu kulambula eby'obulimi mu kitundu kino .