“Basooke Batuliyirire”: Abalaalo baanukudde ku nsalessale eyabaweereddwa Omona
Abalaalo abalundira ente zaabwe mu bitundu by’e Acholi, Lango ne Westnile berayiride nga bwebatagenda kwamuka ebifo byabwe bye bagamba nti babirinako obwannanyini era nga baabifuna mu mateeka.Bano babadde baanukula ku nsalassale w'enaku 14 eyabaweereddwa minisita omubeezi ow’ensonga z’omumambuka ga Uganda Kenneth Omona okuva nga baamuse ekitundu kino Bagamba nti gavumenti bweba esazeewo okubasengula waakiri esoke kubaliyirira .