Abayizi babiri bafiiridde mu akabenje ka baasi e Mityana
Waliwo abayizi babiri abessomero lya Day Star Junior School e Makindye abafiiridde mu kabenje ka Baasi e Mityana.Abayizi bano babadde bava kulambula mu bitundu bye Kasese wabula okusinziira ku Poliisi omugoba wa bbaasi mwe babadde nasimagira okukakkana ngabakubye mu luwonko. Poliisi egamba nti omugoba wa bbaasi eno yamazeemu omusubi era nga mu kiseera kino awenjezebwa.