"ABAMU KU BAKWATA ABANTU TETUBAMANYI": Baminisita Muhwezi ne Kiryowa babadde ku kakiiko k’eddembe
Minisita w'obutebenkenvu Maj. Gen Jim Muhwezi ategezeza akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku ddembe ly'obuntu nga bwewandibaawo abamenyi b'amateeka aberimbika mu bitongole ebikuuma ddembe n'ebatwata n'okusibira bannansi mu bifo ebitamanyiddwa. Muhwezi wabula asambazze ebyogerwa ab'oludda oluvuganya nti ebitonngole ebikuuma ddembe byenyigira mu kutulugunya bannansi.