Poliisi e Kikyusa mu distulikiti ye Luweero esiibye erwanagana n'abatuuze erudda eno abakedde okwekalakaasa olw’embeera embi enguudo zaabwe gyezirimu.
Wabula wakati mu kavuvungano omu ku bekalakaasi poliisi emukubye amasassi agamujje mu budde ekintu ekigye abatuuze mu mbeera nebataama nga amagye gawaliriziddwa okuyingira mu nsonga zino okukakkanya abatuuze.