Olunaku lwenkya KCCA yakuttunka ne Proline mu mupiira gwa liigi ogusembayo mu lusamba olusooka.
Wadde Proline yesembayo ku kimeeza , agikulira Mujib Kasule agamba nti KCCA bagyetaagako obubonero.
Ye omutendesi wa KCCA Mike Mutebi mweralikiirivu olwabazannyi be okuba nga tebakyateeba goolo nga bwegwali.