Bakansala baagala akulira emirimu e Bugweri ave mu wofiisi
E Bugweri, ba kansala ku lukiiko lwa disitulikiti olwaleero basazeewo kwekalakaasa nga baagala Jonathan Mukose akulira abakozi, oba CAO, alekulire emirimu gya Bugweri.
Ba kansala balumiriza Mukose okwekobaana n’abantu abamu ku distulikiti nebabulankanya ssente.
Ekirala, bagamba nti CAO ono akoze kinene okulemesa emirimu nga n’olumu yakwata obuwumbi bwa sillingi 2 nazizzaayo eri gavumenti nga zimulemye okukozesa.