Taata eyazaala mu muwala we asuulidde jjaja omwana
Omukadde Hasifah Namayanja ow’emyaka 65 nga mutuuze w’e Kyabiri mu Gombolola y’e Kibinge e Bukomansimbi akunyiziddwa olw’okulagajjalira omwana ow’emyezi 7.
Tutegeezeddwa nti omwana ono kitaawe yamuzaala mu muwala we, nga n’omuwala kyeyakola olwazaala kwekumuwa jjajja we azaala kitaawe gyasangiddwa mu mbeera embi.