EBY’EKYAPA KYA NAKIBUUKA: Ssaabasumba asabye ab’enganda obutatunda ttaka
Ssaabasumba w’essaza ekkulu era Kampala Paul Ssemogerere avudemu omwaasi kuby’ekyapa ekigambibwa nti kyaali kyawebwaayo omugenzi Maria Terreza Nakibuuka nga kino kyaletawo embiranye makati w’aba famile kwosa n’eklezia nga bano beerayira obutamuziika okutuusa Eklezia lweyabaddiza ekyapa kino. Nakibuuka yazikiddwa olunaku lw’eggulo. Ssaabasumba agamba nti waliwo abantu okwaali n’abakatoliki abaali batandise okuvoola Eklezia olw’ensonga eno.