Aba Lukanga baagala abakwasizaako mu kutumbula ebitone
Lukanga Boxing Club nga y’emu ku kkiraabu z’ebikonde ezisinga obukadde wano mu ggwanga bakubidde bekikwatako omulanga okubakwasizaako mu kuzimba ettendekero abazannyi b’ebikonde mwe batendekebwa gyiyite gyiimu oluvannyuma lw’okumala ebbanga ddene nga batendekerwa mu kibangirizi. Omulimu gw’okuzimba gyiimu gwatandika mu mwaka gwa 2017 kyokka ne gyebuli kati bakyaali ku musingi olw'ebbula ly'ensimbi.