Robert kyagulanyi Ssentamu akiikinde bank y’ensi yona ensingo okusoosowaza edembe ly’abasiyazi
Omukulembeza wa National Unit Platform Robert kyagulanyi Ssentamu akiikinde bank y’ensi yona ensingo okusoosowaza edembe ly’abasiyazi nga basa envumbo ku Uganda nebatafa ku lyabalala. Kino kiddiridde bank y’ensi yonna okugaana okuddamu okuwola eggwanga olw’etteeka eryayisibwa ku muze gw’ebisiyaga. Mu ngeri yeemu ono ategeezeza nga bwagenda okuddamu okutalaaga eggwanga lyona nga aggulawo wofiisi z’ekibiina kyabwe nga bweyakoze mu mawanga g’ebweru. Bino aby’okeredde ku kitebe kyabwe e Kamwokya mwebayanjulidde n’agenda okubakwatira bendera mu kalulu k’okujjuza ekifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e Hoima.