Besigye ne Lutale: Bannamateeka baabwe baakusaba kkooti ebayimbule
Bannamateeka ba Dr. Kiiza Besigye kwossa Obed Lutale bateekateeka kusaba kkooti eyimbule abantu baabwe wiiki ejja .Okusinziira ku Erias Lukwago omu ku bannamateeka bano, abant baabwe bamaze ebbanga lya myezi mukaaga nga bali ku alimanda wabula nga tebannasindikibwa mu kkooti enkulu okutandika okwewozaako .Lukwago era agamba nti oludda oluwaabi terulina bukulibwa bwe lwaleese mu kkooti ku misango bao gye bavunaanibwa kale nga baagala bayimbulwe .