Okuzza obuwagizi eri NRM; Ababaka ne baminisita basiibye bakunga b’e Luwero
Kyadaaki gavumenti etandise okukola ku bisuubizo byayo eri banna Luwero ng’ebula myezi akalulu ka bonna aka 2026 katuuke. Mu by’egenda okukolako mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja mulimu okumaliriza ekitebe kya district y’e Luwero ekirudde nga kizimbibwa era government egenda ku kisaako obuwumbi mukaaga.Gavumenti era etaddewo obuwumbi bubiri n’ekitundu okuzimba ekyuuma ekikamula omubisi mu naanasi President Museveni ky’yasuubiza banna luwero emyaka nga 15 egiyise. Olwaleero abakungu ba NRM, ba minisita n’ababaka ba Parliament basiibye mu luwero nga babunyisa enjiri y’okuzza Buganda ku Museveni ne NRM. Herbert kamoga y’alina ebikira ku bino.