Omulimu gw’obusomesa, wuuno Nanyonga agukozesezza okutandikawo amasomero agage
Omulimu gw’obusomesa guludde nga gutwalibwa nga, ogwabantu abaalemwaokuyita mu masomo amalala ag’enkizo gamba nga obusawo,obwayinginiya kkonebirara. Kyokka waliwo omukyala Sauya Nanyonga gwetutegedde nti ye kuva buto nga yeegomba kubeera musomesa era kati alina amasomero agagge geyazimba.Mukiseera kino,ono akulira essomero lya Secondary, songa alina n’amasomero g’obwananyini abiri aga pulayimale agage .