Omusumba we Ssaza lye Fort Portal Robert Muhiirwa mwenyamivu olw'embeera y'ebintu
Omusumba we Ssaza lye Fort Portal Robert Muhiirwa yennyamidde olw’ebeeyi y’ebintu naddala ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo eyewanika buli kadde - essaza lino lyeryakulembeddemu usable kw’okujjukira abajjulizi ba Uganda ku kiggwa kya bakatulikiti. Ate ku kiggwa kyabakulisitaayo aba greater Ankole diocese bebakulembeddemu okusaba era nga omulabirizi eyawummula okuva mu ggwanga lya Kenya Bishop Samson Mwaruda, asabye abantu ne ggwanga lyonna bulijjo okutambuliranga mu bigere byabajulizi okulwanyisa ebizibu ebibalumba - ebintu bingi ebibadde ku biggwa byombiriri era abasasi baffe kabatuwe emboozi zebatukungaanyirizza.