Okweyimirirwa kw’omukuumi wa Robert Kyagulanyi Ssentamu Achilleo Kivumbi kujulidde
Okweyimirirwa kw’omukuumi wa pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Achilleo Kivumbi kujjulidde oluvanyuma lw’oludda oluwaabi okutegeeza nga bwerwetaaga obudde okusooka okwetegereza abaleeteddwa okweyimirira omukwate. Kivumbi ng’ayita mubannamateeka be abade aleese abantu 3 okumweyimirira asobole okuteebwa. Ono yakwatibwa n’avunaanibwa omusango gw’okubeera n’ebintu eby’ekuusa ku maggye - Yye Agaba Anthony amanyiddwa nga Bobi Young okusabakwe tekuwuliddwa.