NUP ewagira eky'obutazimba omudumu gw'amafuta
Akulira NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu agamba bawagira ekiteeso kya Palamenti y'omukago gwa Bulaaya ekirabula Uganda ne Tanzania obutagenda mu maaso n'okuzimba omudumu gw'amafuta okuva e Bunyoro okugenda e Tanzania. Kyagulanyi abade mulukungana lwa bannamwulire ku kitebe ky'ekibiina e Kamwokya - agamba baludde nga bwandikira amawanga ga Bulaaya gano okulekelawo okukolagana wadde okuvujjirira enteekateeka za Gavumenti yakuno kubanga ensimbi zino ezikozesa kunyigiriza bevuganya wamu n'ebikolwa ebirala ebityobola edembe ly'obuntu.