Eyasangibwa n’omulambo ku pikipiki aguddwako emisango ebiri :ogw'obutemu n'obubbi
Omuvubuka Gideon Nabasa eyasangibwa n’omulambo mu kutiya nga agusibwe ku pikipiki asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asooka e Nabweru mu Nansana n’asomerwa emisango ebiri. Kino kidiridde olunaku lw’eggulo ono okutegeeza nga bweyatta Amon Kagezi.