Enkaayana ku ttaka e Kiryandongo: Abatuuze ku byalo 3 beevuma Taban Amin
Minisita w’eby’ettaka Sam Mayanja alagide akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga ka State house Anti Corruption Unit okunoonyereza ku Taban Amin mutabani w’eyaliko pulezidenti w’eggwanga lino Idi Amin, kubigambibwa nti yenyigira mu mivuyo gy’ettaka.Kidiride abatuuze mu disitulikiti y’e Kiryandongo okumulumiriza nga bwabagobaganya ku ttaka lyabwe nga yeyambisa amaggye.