E Kisoro amazzi gayingiridde e ssomero: Abaana abasoba mu 800 tebakyasoma
Abaddukanya essomero lya gavumenti li Chibumba Primary school e Kisoro, basabye gavumenti okusengula essomero lino liddizibwe ku lukalu. Kino kiddiridde namutikkwa w’enkuba eyatonnya ku sande ewedde, amazzi neganjaalira mu ssomero lino nga n’okutuusa kati abaana balina abatambulira mu nnyanja. Embeera eno etadde abasomesa n’abaana ku bunkenke,ekireesezza nabaana okusoma.