ABAYIZI BATIKIDDWA MU BY'EMIKONO :Balabuddwa obutakulembeza nsimbi
Abayizi abasoma obusawo kko n’obuzaalisa basabiddwa okukulembeza emirimu mu kifo ky’okululunkanira ensimbi. Bino byogeddwa minisita wa Kampala Minsa Kabanda ku mukolo etendekero li Kibuli School of Nursing and Midwifery kweritikkiridde abayizi 360 abakuguse mu busawo kko n’obuzaalisa. Mungeri yemu n’etendeero li Johanet Vocational Institute e Kammengo-Mpigi litikidde abayizi abakuguse mu kutunga,eby’enviiri,kko n'amasomo amalala.