ABASAWO BEEMULUGUNYA :Lwaki abakungu ba gav't baddukira bweru okujjanjabibwa?
Ensangi zino abakungu ba gavumenti bettanira nyo okudduka ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi. Okusinzira ku kibiina ekigatta abasawo ki Uganda Medical Association kino kiviirako Uganda okufiirwa omutitimbe gw’ensimbi nabo okubuusibwabusibwa obukugu bwabwe. Kati baagala minisitule y’ebyobulamu eteekewo enkola y’okulaba nga bakendeeza ku muzze guno.