Aba FIDA batandise kaweefube w'okusomesa abavubuka ku buseegu ng'okozesa emitimbagano
Ekibiina kya bannamateeka abakyala ki FIDA batandise kaweefube w’okutalaaga amasomero kwosa n’amatendekero okusomesa abavubuka obulabe obuli mukusaasanya eby’obuseegu ku mitimbagano. Bagamba nti kino kyakuyambako okukendeeza omuwendo gw’abakyala n’abawala abakabazibwa ku mutimbagano.