Winnie Byanyima agamba kuyite mu kuteesa okumalawo okusomooza mu by’obufuzi
Mukyala wa Dr Kizza Besigye era nga y’akulira Ekitongole ki UNAIDS, Winnie Byanyima agamba ky’ekiseera abakwatibwako ensonga mu ggwanga okutuula obukubirire babeeko kyebakkanyako ku ngeri y’okutwala eggwanga mu maaso, nga yengeri yokka eyinza okutaasa eggwanga okugwa mu katyabaga. Mu lukungaana lw’abamawulire olutudde mu maka ga Dr Besigye e Kasangati, Byanyima ategeezezza nti ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka, enfuga eyeryanyi n’obwannantagambwako bw'abamu ku bukulembeeze mpaawo kalungi kagenda kubivaamu kubanga zeziimu ku nsonga ezaatwala Museveni ne banne mu lutalo Lw’ekiyeekera.