WALIWO ABEESONYIYE OKUVUBA: Bbeeyi y’amafuta eyongedde okuzing’amya emirimu
Ebbeeyi y’amafuta nga bweri kati n’abavubi ku myalo etuuse okubaleesa emirimu. Be twogeddeko nabo batubuulidde nti bannaabwe abamu eby’okuvuba bagize babyesonyiwa nga embeera yeemu ne ku basaabaza abantu ku mazzi. Bano beesanze nga ebisale by’entambula balina okubyongeramu naye ate nga abasaabaze nabo ssente tebakyazisobola.