Tamale Mirundi afiiridde ku myaka 60, waakuziikibwa Kyotera
Palamenti, Bannabyabufuzi wamu n'abantu baabulijjo, beegase ku family y'omugenzi Joseph Tamale Mirundi okumukungubagira era bangi bamwogeddeko ng'omuntu abadde alemera ku mazima nga ajja kulwawo okwerabirwa olw'obutelya ntama nga ayogera ku nsonga ez'enjawulo mu ggwanga. Ab'enganda ze bagamba nti newankubadde nga ensi yategeera nnyo Tamale Mirundi mu kisaawe ky'amawulire, ono abadde muzadde era nga mwetowaze mu maka.Ono tukitegedde nti wakuziikibwa ku Ssande e Kalagala, Kalisizo mu Disitulikiti y'e Kyotera.