Taata ataasizza muwala we atulugunyizibwa
Waliwo taata awaliriziddwa okugenda anunule muwala we okuva ku nnyina omuto, alowoozebwa nti abadde amutulugunya. Kino kiddiridde akatambi akasasaanidde omutimbagano nga kalaga omwana ono nga ali mu mbeera etasanyusa, era nga kitaawe bino okubimanya yabadde kyajje atonnye mu ggwanga okuva ku mawanga gy'anoonyeza ekikumi. Newankubadde taata ono yagaanye okuggula omusango gwonna ku mulamu we, poliisi yo egamba nti yakoze kikyamu era agambibwa okutulugunya alina okukwatiibwa yennyonnyole