Sodo akuba gudikuudo olwa Musherure okuva mu lwokaano
Godfrey Aine amanyiddwa nga Sodo nga y’omu ku beegwanyiza ekifo kya Mawogola north mu Kalulu ka 2026 ayanirizza ekya munne Shartis Musherure gwe babadde bavuganya ku kkaadi y’ekibiina okuva mu lwokaano.
Mu kiwandiiko Shartis Musherure kyafulumizza olunaku lwaleero, ategeezezza nga bwasazeewo okuva mu lwokaano luno olw’ekitiibwa kyawa ssentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga, okutaasa abawagizi be eri effujjo eryabatuusibwako mu kulonda okwaggwa n’okukuuma obumu mu kibiina.
Ebyo nga bikyali awo, banna NRM mu bitundu bye Makindye bakyabinuka masejjere olwobuwanguzi bwe baafunye mu kalulu kabavubuka akaabaddewo ku lwokuna lwa wiiki gye tukuba amabega.