OMWANA AYUBUKA OMUBIRI: Nnyina alumiriza omusawo okumukuba eddagala effu
Waliwo omuzadde alumiriza omusawo mu ddwaliro lye Buwambo Health Center IV mu municipaali y’e Nansana okukuba omwaana we eddagala eryaviriddeko olususu lw’omwana we okutandika okuyubuka. Jane Nakacwa agamba nti muwala we yakubwa eddagala effu bweyali amututteyo okujjanjabibwa omusujja. Wabula omusawo alumirizibwa agamba nti omwana yandiba nga yalina embeera endala eyamuviirako okutandika okuyubuka oluvannyuma lw'okukubwa empisa.