Omuwala alumiriza muganzi we okwokya enju yeekubidde enduulu
Waliwo omuwala agamba nti obulamu bwe buli mu matigga oluvannyuma lw’okuteebereza abadde muganzi we okwokya omuzigo gw’abadde apangisa mu bitundu bya Church zone e Najjanankumbi. Muganzi we gw’ateebereza okwokya omuzigo yakwatibwa ku Sande ewedde kyokka n’ateebwa ku kakalu ka poliisi. Omuwala agamba omuvubuka akyagenda mu maaso n’okumutiisatiisa okumutuusako obulabe. Poliisi emuwadde amagezi addemu amugguleko omusango akwatibwe kuba okumuta ku kakalu k’ayo yali erowooza nti bano bayinza okukkakkana ne bakkaanya nga ensonga tezinnagenda mu kkooti.