Tetujja kulinda kufa: Ab'e Kasese abali mu nsozi basaba kusengulwa
Abantu abawangaalira mu bitundu ebitera okubaamu okuyigulukuka kw’ettaka e Kasese basaba gav’t ebasengule okubazza mu kitundu ekirala.
Olw’embeera gyebalaba egenda mu maaso bagamba sibaakufa nga balaba olw’ebitundu ebibaliraanye okutandika okuyigulukuka olw’enkuba n’amazzi agakulukuta obutakya.