OMUSERIKALE ROBERT MUKEBEZI: Nakati akyanoonya bwenkanya
Robert Mukebezi, omusirikale w'ebidduka eyakubibwa omusirikale wa UPDF essasi mu kugulu eryamutuusa n'okutemwako okugulu okumu alina essuubi nti newankubadde akandaaliridde okufuna obwenkanya, luliba olwo alibufuna era bwe buligaana mu nsi waakiri alibusanga mu ggulu.Agamba tekisoboka okuba nga n'okutuusa kati ab'amagye tebafunanga corporal mango ne Major Alafa b'agamba abavunaanyizibwa ku mbeera gy'alimu. Ono abadde agenda mu kkooti okuwulira omusango gwe omulundi ogusookedde ddala olwaleero naye ne gwongezebwayo.Awezezza emyaka ebiri nga asiiba waka.