OMULIRO KU POLIISI Y’E KATWE: Ennyumba za poliisi 10 ziyidde
Waliwo omuliro ogukutte ennyumba z'abasajja e Katwe nga guno gwonoonye obuyumba kkumi omusulwa abapoliisi. Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire agamba nti omuliro guno guvudde ku masannyalaze wabula nga teri agufiiriddemu.