Omuliro ku kkooti ensukkulumu gukutte wofiisi ya Ssaabalamuzi, poliisi enoonyereza
Poliisi ebuuliriza ku muliro ogukutte ku kkooti ensukkulumu mu wofiisi ya ssaabalamuzi Alphose Owinyi-Dollo. Omuliro gutandise ku ssaawa nga nnya ez'okumakya era birdwo bikyali bya kuteebereza nti gwandiba guvudde ku kyuma ekinnyogoza oba AC. Ab'ekitongole ekiramuzi batubuulidde nti waliwo ebiwandiiko ebitonotono ebyonoonese.