Omuliro e Bweyogerere, taata ayokyezza famire yonna n’efa
Poliisi nakati ekyanonyereza ekyaviiriddeko Nnabambula w’omuliro eyakutte enyumba omwabadde abantu mukaaga ku kyalo Bukasa mu Gombolola y’e Bweyogerere mu kiro ekikeesezza enkya ya leero, okukakana nga bonna basirisse.Okunoonyereza kwa poliisi okusooka kulaga nti omuliro guno gwandiba nga gwakumidda nyini maka gano Fred Ssekabira oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya ne mukyalawe gw’aludde nga alumiriza okubaamu e mbaliga.Omwami n’omukyala , kko nabaana baabwe bonna tewali asimattuse.