OKWANGANGA EBIBAMBA: Abavunaanyizibwa basisinkanye okutema empenda
Abakungu okuva mu bitongole okuli Uganda Red Cross , Minisitule ye bigwa bitalaze ,ekitongole ekivunaanyizibwa ku nteebereza y'obudde saako eky'ensi yonna ekye bye mmere basisikanye mu Kampala olwaleero okuteema empenda butya bwebayinza okwetegeka singa wabaawo ebibamba ebigwa. Kino wekijjidde nga minisitule yebigwa bitalaze n’ebibamba emaze okutegeeza nga bwetalina ssente zimala kwanganga biba biguddewo.