OKUTUUZA OMULABIRIZI: E Luweero betaaga obukadde 250
Abakristaayo mu bulabirizi bwa Luwero banoonya obukadde 250 mu ssaabiiti emu yokka okumaliriza enteekateeka z’okutuuza omulabirizi waabwe ow’okuna. Sabiiti owedde ekanisa ya Uganda yalangiririra Rev. Canon Wilson Kisekka ng’omulabirizi wa Luwero ow’okuna okudda mu bigere bya Rev. Canon Eldard Nsubuga eyawummula. Canon Kisekka wakutuuzibwa ga 24 omwezi guno, era enteekateeka zigenda mu maaso. Wabula n’abaali balemeddeko ku nsonga za kooti omusango bagugyeeyo.