Okusunsula abanaakwatira NUP bendera, abeegwanyiza kaadi nakati bakyeyongera
N’olwaleero abeeganyiza okukwatira ekibiina ki NUP bendera mu kulonda kwa 2026 , bakyeyiwa ku kitebe ky’ekibiina e Makarere Kavule okukomyawo empapula kwe balagira obwetaavu n’obumalirivu bwabwe. Bangi ku bazze olwaleero naddala abeegwanyiza obubaka bwa palamenti , batugambgye nti ekisinze okubaleeta gwemuwaatwa gwebaalaba mu palamenti , anti mu kisanja kino ababaka ababadeyo bagamba nti babade bajjudde okweyagaliza.